Judges 10:17-18

17 aAwo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, n’abaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa. 18 bAbakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”

Judges 11:1-33

1 cYefusa Omugireyaadi yali mulwanyi w’amaanyi; kitaawe yamuzaala mu malaaya. 2Mukazi wa Gireyaadi yali amuzaalidde abaana aboobulenzi, era abaana b’omukazi oyo bwe baakula, ne bagobaganya Yefusa nga bagamba nti, “Tolisikira wamu naffe ku bintu bya kitaffe, kubanga kitaffe yakuzaala mu mukazi mulala.” 3 dAwo Yefusa n’adduka baganda be, n’agenda n’abeera mu nsi ye Tobu. Abasajja abataaliko kigendererwa ne bakuŋŋaana gy’ali ne bamugoberera.

4 eOluvannyuma lw’ebbanga abaana ba Amoni ne bakola olutalo ku Isirayiri. 5Awo abaana ba Amoni bwe baali nga balwana ne Isirayiri, abakadde ab’e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa mu nsi ya Tobu. 6Ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere tulwanyise abaana ba Amoni.”

7 fYefusa n’agamba abakadde b’e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Lwaki kaakano mujja gye ndi nga mulina ekizibu?”

8 gAbakadde b’e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gy’oli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, n’oluvannyuma onoobeera mukulembeze w’abo bonna ababeera mu Gireyaadi.”

9Yefusa n’abaddamu nti, “Singa munzizaayo ne nnwana n’abaana ba Amoni, Mukama n’abampangusiza, n’abeera omukulembeze wammwe?”

10 hAbakadde b’e Gireyaadi ne baddamu Yefusa nti, “Mukama ye mujulirwa waffe, bwe tutaatuukirize kigambo ekyo.” 11 iAwo Yefusa n’agenda n’abakadde b’e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omuduumizi, n’addamu ebigambo byonna bye yayogera mu maaso ga Mukama mu Mizupa.

12Yefusa n’atuma ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni, ng’amugamba nti, “Onnanga ki ggwe, okujja gye ndi, olwanyise eggwanga lyange?”

13 jKabaka w’abaana ba Amoni n’addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isirayiri bwe baali bava e Misiri baatwala ensi yange okuva ku Alunoni ne ku Yaboki n’okutuukira ddala ku Yoludaani. Kaakano gituddize lwa mirembe.”

14Awo Yefusa n’addamu n’aweereza ababaka eri kabaka w’abaana ba Amoni 15 kng’agamba nti,

“Yefusa bw’ati bw’ayogera nti, ‘Isirayiri teyatwala nsi ya Mowaabu newaakubadde ensi y’abaana ba Amoni.
16 lNaye Isirayiri bwe baava mu Misiri ne baba nga bayita mu ddungu nga balaga ku Nnyanja Emyufu n’e Kadesi, 17 mIsirayiri yatuma ababaka eri kabaka wa Edomu nga bamusaba bayitemu buyisi mu nsi ye. Naye ye teyabawuliriza. Isirayiri n’atuma n’ababaka eri kabaka wa Mowaabu, naye n’atabakkiriza kuyitamu. Isirayiri kyeyava asigala e Kadesi.

18 n“ ‘Awo Isirayiri n’alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n’ensi ya Mowaabu, n’ayita ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’ensi ya Mowaabu, ne basiisira emitala wa Alunoni ku nsalo ya Mowaabu.

19 o“ ‘Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli era kabaka w’e Kesuboni, ng’amusaba ng’agamba nti, Tukkirize tuyitemu tulage mu nsi yaffe. 20 pNaye Sikoni n’ateesiga Isirayiri kuyita mu nsalo ye, era Sikoni n’akuŋŋaanya abantu be bonna, ne basiisira mu Yakazi, n’alwanyisa Isirayiri.’

21“ ‘Mukama Katonda wa Isirayiri n’agabula Sikoni n’abantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, n’abawangula, era Isirayiri n’atwala ensi yonna ey’Abamoli. 22 qNe bawamba ensalo yonna ey’Abamoli okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, n’okuva ku ddungu okutuuka ku Yoludaani.

23“ ‘Kaakano obanga Mukama Katonda wa Isirayiri yagoba Abamoli mu maaso g’abantu be Isirayiri, ggwe ani okulwanyisa Isirayiri? 24 rLwaki totwala ensi lubaale wo Kemosi gye yakuwa, naffe ne tutwala eyo Mukama Katonda waffe gye yatuwa? 25 sDdala ddala osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali akaayanyizza Isirayiri wadde okubalwanyisa? 26 tIsirayiri emaze emyaka ebikumi bisatu mu Kesuboni n’ebyalo byayo, ne mu Aloweri n’ebyalo byayo, ne mu bibuga byonna ebiri ku lubalama lwa Alunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo? 27 uKaakano sirina kye nkusobezza naye ggwe onnumbye okulwana nange. Kale Mukama, Omulamuzi, leero alamule wakati w’abaana ba Isirayiri n’abaana ba Amoni.’ ”

28Naye kabaka w’abaana ba Amoni n’atassaayo mwoyo ku bubaka Yefusa bwe yamutumira.

29 vAwo Omwoyo wa Mukama Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni. 30 wYefusa ne yeeyama eri Mukama Katonda ng’agamba nti, “Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, 31ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”

32Awo Yefusa n’alumba abaana ba Amoni n’abalwanyisa, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwe. 33 xN’abakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, bye bibuga amakumi abiri, n’okutuukira ddala ku Aberukeramimu; n’abakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni.

Copyright information for LugEEEE